Abatuze bokubyaro bibiiri okuli Kanaaba ne Mirimu Zone mu Gombolora ya Makindye Ssabaga kati basanyufu
Written by Musinguzi Benard on July 11, 2023
Kyadaki abatuze bokubyaro bibiiri okuli Kanaaba ne Mirimu Zone mu Gombolora ya Makindye Ssabaga,bajaganya okukira akimezeza okwenjaranti bwesikoze wakiri nawuuta,oluvanyuma lw’oluguddo ‘ olubade lufuuse akatiro olwebinya ebinji, okutandika okukolebwa amakya gwolunaku olwalero.
Banno bategezeza nga oluguddo lunno lubadde nebinya bingi, eranga nenfuufu ebade ‘ebamazeko emirembe wabura nga Kati basanyufu olwakinno ekikoledwa.
Omumyuka wa Ssentebe atwala Mirimu Zone yebazeza obukulembeze ku Municipality obukulembelwa Mayor SSemwanga Godfrey Kabuziolwokubalowozako.
Kansala akikirira ekitundu kinno Sambya Dawuda alaze ‘ ebirunji ebigenda okuva mukukora oluguddo lunno.