President Museveni atabukidde aba NRM

Written by on August 27, 2025

Omukulembeze we ggwanga Yoweri Kaguta Museveni atabukidde bonna abeesomye okutambangula eddembe mu biseera nga eggwanga Uganda ligenda mu maaso nokulonda nategeeza nti bano, gavumenti gyakulembera neteefuteefu okubenganga okulaba nga eggwanga lifuna akalulu ake mirembe no bwenkanya.

Presidenti Museveni okwogera bino asinzidde ku kisaawe kya mafuga ekololo mu ttabamiruka wa NRM ayinda ngono olunaku olwaleero akutte olunaku olwokusatu.

Museveni tabadde na bigambo biwoomu ku ngeri bannakigwanyizi bagaamba nti teebagaliza Uganda Mirembe gyebateekateeka okutabangula entekateaka ze ggwanga naddala mu kiseera ekyokulonda, kyokka aweze nti gavumenti ssiyaakusirika nga bino byonna bigenda mu maaso.

Ono assabye banna Uganda okwewara abantu Ekika ekyo.

Omukulembeze we ggwanga Museveni era atenderezza gavumenti gyakulembera eya NRM olwettofaali lyetadde ku nkulaakulana ye ggwanga Uganda, okuva gavumenti eno lweyalinnya mu buyinza nga bino birabikira ku ngeri ebyenfuna gyebizze birinnyamu,ebyobusuubuzi kko nebyobulimi.

“ebituukiddwako NRM byateereddwa mu Katabo era mulimu ebintu ebiwaniridde ebyenfuna okuyita mu bulimi nga ekirime kye mwanyi kko nebyo gavumenti byezza erinnyisa omutindo” President Museveni.


Ssaabawandiisi we kibiina ki NRM Richard Tadwong atandise nokwanjula entekateeka zo lunaku nga bwezigenda okutambuala, ngono ayanjudde ne bifo ebigenda okukubibwako akalulu olunaku olwaleero okuli ekyo mumyuka wa ssentebe omukyala,abamyuka ba ssentebe mu bitundu bye ggwanga ebyenjawulo okuli Centra Eastern,nebilala.


Reader's opinions

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *



Current track

Title

Artist