IGG ALABUDDE ABAKWEKA EBYO’BUGAGGA
Written by Musinguzi Benard on March 4, 2025

Kalisoliiso wa gavumenti mwennyamivu olwabamu ku bakozi ba gavumenti kko n’abakulembeze abalonde bakyagaanidde ddala okwanja eby’obugagga bye balina ng’amateeka bwegalagira.
Kaliisoliiso Betty Olive Namisango Kamya agamba nti ebbanga lyeyakamala mu wofiisi eno, akizudde nti bano bwebajja okwanja eby’obugagga byebalina e bisinga babikukulira, ekyongedde okulinyisa omuze gw’obulyake okwongera okwegyiriisa.
Okwogera bino Kamya abadde alangirira okutandika entekateeka y’okwanja eby’obugagga by’abakozi ba gabvumenti eri kalisoliiso omwaka guno, nga kino kikolebwa buli luvanyuma lwa myaka ebiri.
Era okusinziira ku tteeka okuviira ddala kumukulembeze weggwanga, omumyukawe, speaker n’omumyuukawe, Ssabaminisita n’abamyukabe bonna, ababaka ba palamenti Ssabalamuzi n’abakozi bonna abekitongole ekiramuzi, abakulu mu by’okwerinda nabalala bonna bateekwa okwanja ebyobugagga byonna byebalina.
Wabula kaliisoliiso agamba nti bangi kubano ebyobugagga byabwe babikukulira, ate abandi babiwandiisa mumannya gabantu balala ekintu ekyongedde okukalubya omulimo guno.
Okusinziira ku tteeka omukumbeze yenna atayanjizza byabugagga bye, singa azuulwa kiyinza okumuviirako okufiirwa ekifo kye.
Omulundi ogwasembayo abakulembeze ebitundu 12 % tebayanja bya bugagga byabwe kyokka n’ababyanjula nabo kigambibwa nti balina byebakukulira.
Bya Peterson Kagogwe (News Anchor/Editor)