Lubega Mukaaku atabukide Bobi Wine

Written by on March 4, 2025

Munnabyabufuzi era munnakisinde ki Democratic Alliance (DA) Samuel Walter Lubega Mukaaku, asabye abali ku ludda oluvuganya okwekomako ku byebakola byagamba nti bisosonkereza abebyokwerinda, nebwebaba babikolera mu mateeka.

Mukaaku onokoddeyo eky’okwambala obukofiira obumyufu obuli mukikula ng’ekyobwamagye bu ‘beret’ n’agamba nti newankubadde balina eddembe okubwambala, wabula mukiseera kino kiba kirungi okubwerekereza kubanga bugenda kuttisa abantu bangi.

Lubega Mukaaku

Munnakisinde ki DA Lubega Mukaaku agamba ensiitaano eyabadde wakati w’abakuumaddembe n’abawagizi ba NUP naddala abakazibwako erya Foot solders bwebabade bagenda okuwenjezza munamateeka Erias Luyimbazi Nalukoola akalulu k’okujuza ekifo kye Kawempe North, ye byonna ebyadewo agamba ‘bubadi’ obutegekebwa aba NUP okulaba nga basikiriza abantu okubalonda n’okulowoozesa ensi nti gavument ebatulugunya.

Ono agamba nti balina kukolera wamu okulaba nga bakola enongosereza mu mateeka g’ebyokulonda bamalewo ebyekwaso byonna.

Bya Peterson Kagogwe (News Anchor/Editor)


Reader's opinions

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *



Current track

Title

Artist