National Population Council (NPC) ezzude nti disitulikiti y’e Alebtong ye singa okuwandiisa emisango emitono egy’abaana abato nga bafuna embuto .
Written by Musinguzi Benard on July 11, 2023
Okunoonyereza okupya okwakoleddwa ekitongole kya National Population Council (NPC) kuzudde nti disitulikiti y’e Alebtong ye singa okuwandiisa emisango emitono egy’abaana abato nga bafuna embuto .
Ebyavudde mu kunoonyereza kuno biraga nti Oyam ye yasinze okuba nabaana abato abafuna embuto ng’erina emisango 4,448, n’eddirirwa Lira nabaana abato abali embuto 3,871, Kole n’ewandiisa abaana 3,186, Dokolo 2,363, ne Kwania 2,332 bonna bali mbuto kumyaka egyitanawera 18.
Ebirala , Amolatar yafulumide mukyamukaaga nabaana 1,939 nga bali mbuto , Apac 1,714 ne Otuke nembutone 1,506.
Mr Ntege yategeezezza nti, buli mwaka, National Population Council ekola okunoonyereza mu ggwanga lyonna okuzuula disitulikiti ekoze obulungi mu kukendeeza embuto z’abaana era nga eweebwa ebirabo.
Abakulira amasomero mubitundu ebyoagamba nti enkola y’obutagoba bayizi ku ssomero olw’ebisale by’essomero ebitasasulwa nayo eyambye okukendeeza ku misango gy’okufuna embuto mu disitulikiti eno.