Brig Gen. Godfrey Kaweesa Kigozi,awabudde abaserikale abakuluabateekateeka okuwummula mu gwomunaana
Written by Musinguzi Benard on July 6, 2023
Amyuka akulira abakozi n’enzirukanyay’emirimu mu ggye lya Uganda People’s Defence Force (UPDF) Brig Gen. Godfrey Kaweesa Kigozi,awabudde abaserikale abakuluabateekateeka okuwummula mu gwomunaana, 2023 okuban’enteekateeka y’okuwummula ngabalina endowooza ennungi ngabeetegekera obulamu bwabwe obupya.
Bano abategeezezza nti nga bagendaokuwummula, balina okubeeran’enteekateeka ey’ekigendererwa,endowooza ennungi okusobolaokukozesa ssente mu ngeri ey’amagezi,
Mungeri yeemu kaminsona w’abakozimu minisitule y’ebyokwerindan’abaazirwanako, Cox Anguzuyawadde abaserikale abawummuddeamagezi okwewala okusaasaanya ssenteeziteetaagisa.
Abaserikale ba UPDF 110 okuva kuddaala lya Brigadier okutuuka kuGeneral be basuubirwa okuwummulanga August 31, 2023.